Search

Essula 3: Zinunula bubeefuka n’embogo

Essula 3: Zinunula bubeefuka n’embogo

Nga tweyongerayo mu lugendo olwatutolosa eka, omusajja eyatuli mu maaso twalaba ng’alina kyeyeekengera ne tuyimirira. Twagenda okulaba ng’agalamira, tuba tukyasamaaliridde, nga mu maaso gye twali tulaga efulumyeyo embogo eyakula n’egangayira, anti amayembe gonna nga gagisibaganye. Naffe ne tugalamira ne tulambaala ng’abafudde. Twalowoozanga nti waliwo embogo emu, kazzi nga ziri bbiri. Bwe zaalaba nga tezitulaba, ne zijja nga zitunoonya. Bwe zaatuggukako ne zituwunyaawunyako ate ne zidda ku bbali ne zigalamira ne zituteega. Omusajja yalabaakanyego kalamuddwa akasiriikiriro, n’ayimusa ku mutwe alabe oba kiri mulaala. Aba atuula kazzi embogo eri awo obwedda egamwegese, kwe kunaawuuka eri ng’enjuki n’emutunga ejjembe mu mbiriizi n’emusitula n’emusinsimulira mu bbanga, n’emutujja ennume y’ekigwo yavuumiramu omulundi gumu nga lumalamu amazzi naye yafiira mu bulumi obutagambika! Akasiriikiriro kaddawo naye nalaba wayiseewo ebbanga ggwanvu ddala ngampaawo kakuba, ne njagala nsitule ku mutwe ndabe oba embogo zigenze.Namagalaza amatu nga wonna cce, kwe kutuula ne mmagamaga nga siraba mbogo, ne nsituka. Mba nsituka ne mpulira Mikolo ng’aleekaana nti, ‘Gwa! ofa!’ Okukyuka nti ng’embogo eri kumpi nnyo okuntuukako ejja bukula. Ne nneewuttula kyabugazi ne njiringita ne nneevuunika ereme kunsogga nga ndaba, olwo nno ng’embuuse. Bwe yadda n’esenseza ejjembe wansi w’olubuto lwange. Eba ensitula, ne njiringita ne ndivaako ne nkola bwentyo emirundi esatu naye ku gwokuna ne ndaalira ku kikolo ky’akati. Yambinula n’emberula n’enkasuka mu bbanga, n’etega amayembe ng’erindirira nzire ngeetonnyeko gankole ogwa walugali. Kyagibuukako, yakanda kutega mayembe na kulindirira mbu nzira, nga bwereere nze nfuuse musu gw’e Kanyanya ‘Mugenzitazze’. Tekuba kutya na nsisi, nandikubye n’enkwawa, anti embogo bwe yankasuka waggulu nagwa ku matabi g’obuti agaali gaboyeddwa ebibowabowa n’ebbombo ne ngalamira okwo bugazi nga siyinza kwenyeenya wadde okwekyusa olw’okutya okusumattuka okugwa wansi. Enjuba yali eri ku ggulu eryetadde ng’eyaka omusana ogwansiika ne gumbabira ne mbugujja ne nkamala nze nga buli kaseera mponga buwonzi Mikolo aleme kwenyeenya kumumalirako kiruyi. We nali nagiwuliranga ng’efuuwa. Mba ndi ku kibanyi kyange okwo, nga ndaba ssebukuule w’omusota ajja akkira ku ttabi ly’omuti eryali lireebeetera ku busammambiro bw’akati kwe nali ndaalidde. Ssessota bwe yali ali kumpi okutuukira ddala ku makoola ag’oku busanso bw’ettabi, ne yeezinga amakata n’asirika, olwo nno n’asigalira kutongeza nnimi. Nga wayiseewo ekiseera ng’omuntu ky’atambuliramu akatalatala akatono n’akamalako, oba gaali maanyi ga mpewo eyakunta oba akatabi kaatendewererwa obuzito bw’ery’e Kalungu ne simanya, anti nagenda okuwulira ng’essota linneegonnomola ku bigere. E e-e-e ne njula okufa ensisi. Bwe nateebanga okwenyeenya, nti limbojja ne ŋŋuma nagenda okuwulira nga lyezingulula mpola ne lijja nga lintambula, liiryo ku bisambi, ku lubuto, ku kifuba, tugatunuulaganyizza. Olwo nno okugwa n’embogo ne mbyerabira, ne ndowooza gusota ogwo gwokka, kwe kugubaka mu bulago ne nsindika eri ekinene. Nagenda okuwulira nga gwewuttudde wansi. Eyo gye gwalaga mpozzi ye yali embogo eyookubiri, yalaba gugirumba n’eyotta kubanga nawulira akabuguutano ng’edduka. Nze olw’okwenyeenya ennyo nga nsindika ogusota, ate nga n’ebibowabowa byayidde dda, byo kwe kwesenda ne bimpa ekyanya. Wamma ggwe ne ŋŋenda yiriyiri okuwummula nga nekkase ku mugongo gw’embogo nange nno ngyebagazze mabega ekintu kye saayagala. Ekyekango nga bwe kitamanya muzira, embogo bwe yalaba efunye omwebagazi gw’eteeyagalidde, n’etyekula emisinde n’egenda anti ng’ebuuka ebibanda! Nze olwo ne njiringita!

Viola Lunkuse

Viola Lunkuse

Writer, developer, and dreamer

Leave a comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Your experience on this site will be improved by allowing cookies Cookie Policy