Search

Akatabo zinunula omunaku [Part2]

Akatabo zinunula omunaku [Part2]

Ebigambo bisirikitu ddala ebyawambira ne bisimba amakanda era ne bitebenkera mu mmeeme yange, nga biva mu ebyo jjajjange bye yannombojjera, ebyaliwo mu kuzaalibwa kwange. Nazaalibwa mu nsi y’e Tigati mu ssaza ly’e Kitoma, mu Ggombolola ya Bagayakyezinze, ku kyalo Ndolombe, mu kiseera Ssekabaka Kondooba Ndagu Balunginsiiti mwe yaggyira omukono mu ngabo, mutabani we Zigulensigo Kkonkomebbi Kitawongwa amale amuddire mu bigere, enjuba bwe yali egolooba ng’akasendabazaana keememula era ng’ezzooba lyakamala mbale kasookedde lyewanika mu lubaale. Ekyeya ekyayaka ppereketya, ekyayandaakalaza ensi yonna n’erakasira era ekyakooza abantu bonna akagiri bwe kyali kisendeekerezebwa nga kiri kumpi n’okulabibwa mu nkoona, enjala Tolyamunno, Kiryankondwe, Kisannumbu, Ssaanya, Gulikunfuuzi, Kakutiya, Kiryansanafu, okuggyako eno eya jjo ly’abalamu Gwomuwaddaakatebe, bwe zaali zimaze okubaawo era olutabaalo lwe Zinaddookunywa nga lwakadda. Mu maliiri g’olunaku olwo, kalenge eggulu yalitimba era ne ssuulwe yali yagudde mungi ekiro. Kyokka mu kiseera ky’akalasamayanzi obudde bwali bwetadde bulungi era ng’akasana keemulisa bulala awo ng’engajaba we zitandikira okulangaala bwe ziba nga zirima. Okuva mu ggwango okutuuka mu malya g’ebyemisana, enkuba egulansigo yafukumukamu kubanga omwaka omukazi gwali kumpi okukkirira, era okuva mu kiseera ekyo okutuukira ddala mu makola g’ebyeggulo obudde bwali bwa kitto era ekinnyikaggobe, ng’eggulu lyonna kazigizigi alirippyeeko era nga linyiibanyiiba. Naye nno olunywankoko olwawandaggirira nga ndi kumpi ddala okwetondeka mu nsi, eggulu lwe lwalyozaako ebire. Mu kiseera kyennyini kye nagoberamu mu nsi eno, akasana kaali kaaka bulungi era katangalijja ku bikoola by’ebimera. Mmange ne bajjajjange baasanyuka nnyo nga nzaaliddwa kuba kitange bwe yali afa yalaama nti, “mukazi wange ali olubuto bw’azaalanga ‘nnaatuukirira’ y’ansikiranga; naye bw’azalanga ‘gannemeredde’, omu ku baana ba baganda bange ansikiranga”. Ekintu ekitaasanyusa bajjajja bange taata okusikirwa ataviiridde ddala mu ntumbwe ze.
 

Viola Lunkuse

Viola Lunkuse

Writer, developer, and dreamer

Leave a comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Your experience on this site will be improved by allowing cookies Cookie Policy