Nkaluubirirwa okujjukira byonna ebyandiko mu buto bwange ,omanyi nnayanguwa okwetengerera kuba nnayavula mate ,naye mbu mba ntandika okujja nti akagere mmange n'afa awo nendekebwa awo mulekwa era enfuuzi mu mikono gya bajjajja bange abakulu abamuzaala. Taata yye teyankubako na mmunye ye .Kubanga yeebikka olubugo mu maaso mukiro ekyakeesa obudde nga wasigadde ennaku mwenda mmale nzaalibwe. Yamala kutaagulwataagulwa nsolo ku kizigo n'emutta enjole ye n'egalamizibwa mu kiwummulo kyayo e Ndolombe. Mu kukungubaga okw'emiranga emingi n'ebiwoobe ebinene ate ebingi kubanga yali mwana nzaalwa nkulize eyo mukitundu ekyo. Bwe nn'esusunkulamu katono ,ne ŋŋenda ne jjajjange omukazi ku lubimbi ,oluusi nnasibanga empummumpu ku lwayi ne nzitwalira jjajja nge omusajja nga nziyita nte era buli mulundi ng'annebaza bwennagenda gyali enkya ennyo nga mmusanga ayimbula emituba gye egy'emisaaala oba ebitentegere , naye bwe nnagendangayo ng'obudde bw'enyodde nnamusanganga mu kkomagiro ng'akomaga. Bulijjo yasanyuka nga okundaba, nnewankubadde ng'emirundi egimu yankaayuukiranga nga nsobezza , naye okusingira ddala bwe nneesiiganga obuleebo oba bwe nnasaaalimbiranga ku mitanda gy'embugo egiwedde okusaaka ,okutega n'okuttula nga gyanikiddwa,era ng'oluusi n'owe e Mbuya anjogererako. Jjajjange oyo yali musajja eyajjula embazuulu, era nga wazimu yamwambadde nga tatembeka era ng'olwo abanaamusala mmaaso babalwa ku ngalo. Kyokka mubiseera bya teesuulirangamu jjulume ng'abereega era nga saagasaaga nnyo nga tugasseeko okugerenjula okw'engero . Olumu ku nnaku zensinga okujjukira obulungi ,lwe luulwo lwennasooka okufunirako ensimbi. kino kyajja bwekiti: erinnyo lyannuma nnyo ne limmaza ennaku enzingu ssatu n'erinjigijja ate nga bwe lintujja era buli lunaku nga jjajja omukazi alinyeenya. Ku lunaku olw'okusatu nnalikuulayo mu kibuno nandagira nditwale mu mukwesese gwe mmese okumpi n'omunnyinnyi nditeeke omwo. Nga wayiseewo olunaku lulamba ne ŋŋenda nningizaamu mu mukwesese nnagenda okulaba nga we nnassa erinnyo waliwo nsimbi ,awo nga njijjayo ,nga ngitunga ku lwayi ,buli muntu eya kyala ng'awaka ngangijjayo nga ngimulaga era nga mmutegeeza n'gemmese bwe yagimpa. Awaka waffe tewaggwanga mpande, amayuuni, balugu, kyetutumula , nnandigoya, amatooke, empindi, empinnamuti, ebikongo, emiboga , ensujju, era n'enva endiirwa ng'essunsa , nnakati, ejjobyo, ettimpa, ddoodo, ejjerengesa, embooge, enderema, ne ziizi. Bwennagenda nneyongera embavu, ne ŋŋendanga n'abalenzi abo kumuliraano, okulunda embuzi nga nno ndi bbuutiti era nga nkunnumba bute. Eyo kuttale, gyennayigira okumeggana, okulwanyisa emiggo, okukuba ekimiro, okukuba ggogolo, okukuba embiga,bera n'okwebagala ente. Bwe twabeera nga awaka, twabonga nga enje,twayesanga mu mweso ogw'okuttaka, twakubanga enkuyo, ebikokyo oba okugera engero era nga tulombojja ensozi. Omu ye yasookanga n'agamba nti ,"kiiso kya mbuzi" omulala nagamba nti, "Kabaka"Eyasooka n'ayogera nti, "Mbuulira ensozi,"oli n'ayogera erinnya ly'olusozi. Alombojja bwe yasirikangamu okulowoowoza, ng'agudde. Emirundi egimu, twatunuuliranga abawala nga babaka, nga bazannya kantuntunu, oba nga basiita. Era bo battanga ne nkulimbye oba vvawo ndye.Nze nnayagalanga nnyo okukuba ssekitulege, mu biseera eby'omuggandaalo.
Leave a comment
Your email address will not be published. Required fields are marked *